Jeremiah 10

Katonda ne bakatonda abalala

1Muwulire ekigambo Katonda ky’abagamba, mmwe ennyumba ya Isirayiri. 2 aBw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Temugobereranga makubo g’amawanga
oba okweraliikirira obubonero obw’oku ku ggulu,
kubanga amawanga ge byeraliikirira.
3 bKubanga empisa ez’amawanga tezigasa;
batema omuti mu kibira,
omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.
4 cBagunyiriza ne ffeeza ne zaabu,
bagukomerera n’enninga n’ennyondo
guleme okunyeenyanyeenya.
5 dBakatonda bafaanana nga ssemufu
mu nnimiro y’ebibala,
era tebasobola kwogera
kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.
Tobatya,
tebayinza kukukola kabi konna,
wadde okukola akalungi n’akamu.”

6 eTewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda.
Oli mukulu,
era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.
7 fAni ataakutye,
Ayi Kabaka w’amawanga?
Kubanga kino kye kikugwanira.
Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga
ne mu bwakabaka bwabwe bwonna
tewali ali nga ggwe.
8 gBonna tebalina magezi basirusiru,
abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.
9 hFfeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi,
ne zaabu eva e Yufazi,
ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze
byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu.
Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.
10 iNaye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu,
era Kabaka ow’emirembe gyonna.
Bw’asunguwala, ensi ekankana,
amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.

Katonda Omulamu ne Bakatonda Abataliimu

11 j“Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’ ”

12 k Mukama yakola ensi n’amaanyi ge,
n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge,
era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.
13 lBw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma,
asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi.
Amyansisa eggulu mu nkuba,
era n’aggya empewo mu mawanika ge.

14Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera;
buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze.
Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba,
era tebiriimu bulamu.
15 mTebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa
ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
16 nOyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo,
ye Mutonzi w’ebintu byonna,
era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

Okuzikirira Okujja

17 oMukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi,
mmwe abazingiziddwa.
18 pKubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Laba nfuumuula abantu
mbaggye mu nsi eno,
era ndibaleetako ennaku
balyoke bawambibwe.”

19 qZinsanze nze olw’ekiwundu kyange
ekinnuma ennyo.
Naye ate ne ŋŋamba nti,
“Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.”
20 rEweema yange eyonooneddwa,
era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali.
Tewali n’omu asigaddewo kaakano
kuzimba weema yange
wadde okuzimba ekigango kyange.
21 sKubanga abasumba bafuuse ng’ensolo
tebakyebuuza ku Mukama.
Noolwekyo tebakulaakulana
era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.
22 tWuliriza!
Amawulire gatuuse,
waliwo akeegugungo ak’amaanyi okuva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo by’ebibe.

Okusaba kwa Yeremiya

23 uMmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe,
omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.
24 vNnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde,
si mu busungu bwo,
si kulwa ng’onfuula ekitaliimu.
25 wYiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,
agatakutwala ng’ekikulu,
ku bantu abatakoowoola linnya lyo.
Kubanga bamazeewo Yakobo,
bamuliiridde ddala
era ne boonoona ensi ye.
Copyright information for LugEEEE